Matthew 23

1Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, 2 a“Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. 3Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. 4 bBasiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.

5 c “Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo
bwali bubokisi obutono bwe baateekangamu ennyiriri ez’ebyawandiikibwa ne bwambala mu kyenyi oba ku mukono
omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba.
6 eBaagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. 7 fBanyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’

8 “Temweyitanga ‘Labbi
Labbi kitegeeza Omuyigiriza
,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda.
9 hEra temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. 10Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. 11 iOyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. 12 jNaye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.

13 k “Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.

14 “Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe. 15 lZibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.

16 m “Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’ 17 nMmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu? 18Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’ 19 oMmwe abazibe b’amaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu? 20Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto n’ebikiriko byonna, 21 pera bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu. 22 qEra bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako.

23 r “Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kintu, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu eby’amateeka, ng’obwenkanya, n’okusaasira n’okukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu eky’ekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira. 24 sMmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!

25 t “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka. 26Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.

27 u “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu,
Omuntu eyalinnyanga ku malaalo, yafukanga atali mulongoofu (laba Kub 19:16). Abantu kyebaava bagasiiganga langi enjeru, basobole okugalaba ne mu kiro
songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri.
28Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka.

29 w “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, ne mutimba ebijjukizo, by’abatuukirivu, 30ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gw’abannabbi.’ 31 xBwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi. 32 yMugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza.

33 z “Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? 34 aaKyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe. 35 abBwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala. 36 acDdala ddala mbagamba nti ebyo byonna birituuka ku mulembe guno.

37 ad “Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana. 38 aeLaba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa. 39 afKubanga nkugamba nti toliddayo kundaba nate, okutuusa ng’oyogedde nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”

Copyright information for LugEEEE